John 6:45 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu balanzi baawandiika nti: ‘Bonna baliyigirizibwa Katonda.’ Buli eyawulira Taata n'ayiga, ajja gye ndi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga kyawandiikibwa mu bannabbi nti, ‘Bonna baliyigirizibwa Katonda.’ Era buli gw’ayigiriza n’ategeera amazima ajja gye ndi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyawandiikibwa mu bannabbi nti Ne bonna baliyigirizibwa Katonda. Buli eyawulira Kitange n'ayiga, ajja gye ndi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyawandiikibwa mu kitabo ky'abalanzi nti: ‘Bonna Katonda alibayigiriza.’ Buli eyawulira Kitange n'ayiga, ajja gye ndi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyawandiikibwa mu bannabbi nti Ne bonna baliyigirizibwa Katonda. Buli eyawulira Kitange n'ayiga, ajja gye ndi.