John 6:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu bwe yasitula amaaso n'alaba ng'ekibiina kijja gy'ali; n'agamba Filippo nti: “Tunaagula wa emigaati abantu bano balye?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu bwe yayimusa amaaso n’alaba ekibiina ky’abantu ekinene, nga bajja gy’ali, n’agamba Firipo nti, “Tunaagula wa emmere okuliisa abantu abo bonna?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu n'ayimusa amaaso, n'alaba ekibiina ekinene nga kijja gy'ali, n'agamba Firipo nti, “Tunaagula wa emmere, bano gye banaalya?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu bwe yasitula amaaso, n'alaba abantu bangi nnyo nga bajja gy'ali, n'agamba Filipo nti: “Tunaagula wa emmere, abantu bano gye banaalya?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yesu n'ayimusa amaaso, n'alaba ekibiina ekinene nga kijja gy'ali, n'agamba Firipo nti Tunaagula wa emmere, bano gye banaalya?