John 6:53 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'abagamba nti: “Mbagambira ddala mazima nti bwe mutaalyenga nnyama ya Mwana wa muntu, bwe mutanywenga musaayi gwe, temuubeerenga na bulamu mu mmwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti bwe mutalya mubiri gwa Mwana wa Muntu, ne munywa n’omusaayi gwe, temuyinza kuba na bulamu mu mmwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu n'abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti Bwe mutalya mubiri gwa Mwana wa muntu ne munywa omusaayi gwe, temulina bulamu mu mmwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'abagamba nti: “Mazima ddala mbagamba nti bwe mutalya mubiri gwa Mwana wa Muntu, era bwe mutanywa musaayi gwe, mu mmwe temuba na bulamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yesu n'abagamba nti Ddala ddala mbagamba nti Bwe mutalya mubiri gwa Mwana wa muntu ne munywa omusaayi gwe, temulina bulamu mu mmwe.