John 6:54 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Alya ennyama yange n'anywa omusaayi gwange abeera n'obulamu obutaggwaawo, nange ndimuzuukiza ku lunaku olw'oluvannyuma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli alya omubiri gwange n’anywa n’omusaayi gwange, ng’afunye obulamu obutaggwaawo era ndimuzuukiza ku lunaku olw’enkomerero.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Alya omubiri gwange, era anywa omusaayi gwange, alina obulamu obutaggwaawo; nange ndimuzuukiriza ku lunaku olw'enkomerero.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oyo alya omubiri gwange, era anywa omusaayi gwange, aba n'obulamu obutaggwaawo. Era ndimuzuukiza ku lunaku olw'enkomerero.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Alya omubiri gwange, era anywa omusaayi gwange, alina obulamu obutaggwaawo; nange ndimuzuukiriza ku lunaku olw'enkomerero.