John 6:58 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Guno gwe mugaati ogwakka nga guva mu ggulu; teguli nga guli bajjajjammwe gwe baalya ne bafa. Alya omugaati guno, alibeera mulamu emirembe gyonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eno ye mmere eva mu ggulu. Teri ng’eyo bajjajjammwe gye baalya ne bafa. Alya emmere eno anaabanga mulamu emirembe n’emirembe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eno ye mmere eyava mu ggulu, si nga bajjajja bwe baalya ne bafa: alya emmere eno aliba mulamu emirembe n'emirembe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Guno gwe mugaati ogwava mu ggulu. Teguli ng'ogwo bajjajjammwe gwe baalya ne bafa. Alya omugaati guno, aliba mulamu emirembe n'emirembe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eno ye mmere eyava mu ggulu: si nga bajjajja bwe baalya ne bafa: alya emmere eno aliba mulamu emirembe n'emirembe.