John 6:60 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bangi mu bayigirizwa be bwe baawulira, ne bagamba nti: “Ebigambo ebyo bikalubo; ye ani ayinza okubiwuliriza?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abayigirizwa ba Yesu bangi bwe baabiwulira ne bagamba nti, “Ekigambo ekyo kizibu okutegeera. Ani asobola okutunnyonnyola ky’agamba?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bangi ab'omu bayigirizwa be bwe baawulira ne bagamba nti, “Ekigambo ekyo kizibu; ani ayinza okukiwuliriza?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bangi ku bayigirizwa be bwe baawulira, ne bagamba nti: “Ekigambo ekyo nga kizibu! Ani ayinza okukiwuliriza?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bangi ab'omu bayigirizwa be bwe baawulira ne bagamba nti Ekigambo ekyo kizibu; ani ayinza okukiwuliriza?