John 6:61 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu bwe yategeera munda ye ng'abayigirizwa be babyemulugunyiza, n'agamba nti: “Ekyo kibeesittazza?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu bwe yategeera nga n’abayigirizwa be bakyemulugunyako, n’abagamba nti, “Ekyo kibeesittaza?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Yesu bwe yamanya munda mu ye nti abayigirizwa be beemulugunyiza kino, n'abagamba nti, “Kino kibeesittaza?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu bwe yategeera ng'abayigirizwa be beemulugunya olw'ekyo, n'abagamba nti: “Ekyo kibeesittaza?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Yesu bwe yamanya munda mu ye nti abayigirizwa be beemulugunyira kino, n'abagamba nti Kino kibeesittaza?