John 6:64 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka abamu mu mmwe tebakkiriza.” – Anti okuviira ddala mu masooka, Yezu yali amanyi abo abatakkiriza n'eyali agenda okumulyamu olukwe. –
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye era abamu ku mmwe temukkiriza.” Kubanga okuva ku lubereberye Yesu yategeera abatamukkiriza era n’oyo agenda okumulyamu olukwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye waliwo abalala mu mmwe abatakkiriza.” Kubanga Yesu yamanya okuva ku lubereberye abatakkiriza bwe baali, era n'agenda okumulyamu olukwe bw'ali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye waliwo ku mmwe abatakkiriza.” (Okuviira ddala mu kusooka, Yesu yamanya abo abatakkiriza, era yamanya agenda okumulyamu olukwe).
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye waliwo abalala mu mmwe abatakkiriza. Kubanga Yesu yamanya okuva ku lubereberye abatakkiriza bwe baali, era n'agenda okumulyamu olukwe bw'ali.