John 6:65 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agamba nti: “Kyenvudde mbagamba nti mpaawo asobola kujja gye ndi, wabula beppo nga kimuweereddwa kuva wa Taata.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo n’agamba nti, “Kyennava ŋŋamba nti tewali ayinza kujja gye ndi bw’atakiweebwa Kitange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agamba nti, “Kyenvudde mbagamba nti Tewali ayinza kujja gye ndi bw'atakiweebwa Kitange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'agamba nti: “Kyenvudde mbagamba nti: ‘Tewali ayinza kujja gye ndi, wabula nga Kitange ye amusobozesezza okujja.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agamba nti Kyenvudde mbagamba nti Tewali ayinza kujja gye ndi bw'atakiweebwa Kitange.