John 6:70 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'abaddamu nti: “Mmwe saabalonda, Ekkumi n'Ababiri? Naye omu ku mmwe Sitaani.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu kwe kubagamba nti, “Mmwe ekkumi n’ababiri si nze nabalonda? Naye omu ku mmwe Setaani!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'abaddamu nti, “Si nze nnabalonda mmwe ekkumi n'ababiri (12)? Naye omu ku mmwe ye Setaani.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'abaddamu nti: “Si nze nabalonda mmwe ekkumi n'ababiri? Naye omu ku mmwe Sitaani!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'abaddamu nti Si nze nnabalonda mmwe ekkumi n'ababiri, era omu ku mmwe ye setaani?