John 6:71 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yali ayogera ku Yuda mutabani wa Simoni Yisikariyoti, kubanga oyo, omu ku Kkumi n'Ababiri, ye yali agenda okumulyamu olukwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu yayogera ku Yuda, mutabani wa Simooni Isukalyoti, kubanga ye yali agenda okumulyamu olukwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yayogera ku Yuda omwana wa Simooni Isukalyoti, kubanga ye yali agenda okumulyamu olukwe, newakubadde yali omu ku kkumi n'ababiri (12).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yayogera ku Yuda, omwana wa Simooni Yisikaryoti, kubanga ye yali agenda okumulyamu olukwe, newaakubadde nga yali omu ku bayigirizwa ekkumi n'ababiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yayogera ku Yuda omwana wa Simooni Isukalyoti, kubanga ye yali agenda kumulyamu olukwe, ye omu ku kkumi n'ababiri.