John 7:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvuuvuumo ne luba lunene mu bantu; abamu nga bagamba nti: “Muntu mulungi;” ko abalala nti: “Nedda, awubisa abantu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne wabaawo oluvuuvuumo lungi mu bantu. Abamu ne bagamba nti, “Mulungi.” Naye abalala nga bagamba nti, “Nedda, alimba abantu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne waba okumuunyamuunya kungi mu bibiina. Abalala nga bagamba nti, “Mulungi;” ate abalala nga bagamba nti, “Nedda, naye akyamya abantu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne wabaawo oluvuuvuumo lungi ku ye mu bantu. Abamu nga bagamba nti: “Mulungi.” Abamu nga bagamba nti: “Nedda, akyamya abantu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne waba okumuunyamuunya kungi mu bibiina. Abalala ne bagamba ku ye nti Mulungi; abalala ne bagamba nti Nedda, naye akyamya ekibiina.