John 7:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayudaaya ne beewuunya, ne bagamba nti: “Omuntu ono ng'alina amagezi sso nga tayigangako?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakulembeze b’Abayudaaya ne beewuunya nga bagamba nti, “Omuntu ono ayinza atya okumanya okusoma so nga tasomangako?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abayudaaya ne beewuunya ne bagamba nti, “Ono amanya atya okusoma nga tayigirizibwangako?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayudaaya ne beewuunya, ne bagamba nti: “Ono amanyi atya ebingi bwe bityo, sso nga tayigangako?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abayudaaya ne beewuunya ne bagamba nti Ono amanya atya okusoma nga tayigirizibwangako?