John 7:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayogera ku bubwe agoberera kitiibwa kye; naye agoberera ekitiibwa ky'oli eyantuma oyo aba wa mazima, mu ye temuba bulimba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayogera ku bubwe anoonya kitiibwa kye, naye oyo anoonya ekitiibwa ky’oyo eyantuma wa mazima so n’obutali butuukirivu tebuba mu ye. Musa teyabawa amateeka?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayogera eby'amagezi ge, anoonya kitiibwa kye, wabula anoonya ekitiibwa ky'oyo eyamutuma, oyo aba wa mazima, so obutali butuukirivu tebuli mu ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayogera ku bubwe anoonya kitiibwa kye, wabula anoonya ekitiibwa ky'oyo eyamutuma, aba wa mazima, era tabaamu bukuusa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ayogera eby'amagezi ge, anoonya ekitiibwa kye ye: naye anoonya ekitiibwa ky'oyo eyamutuma, oyo wa mazima, so obutali butuukirivu tebuli mu ye.