John 7:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa teyabawa etteeka? Sso mu mmwe temuli akwata tteeka eryo. Munnoonyeza ki okunzita?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku mmwe tekuliiko n’omu akwata mateeka. Kale lwaki musala amagezi okunzita?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa teyabawa mateeka, so mu mmwe tewali akwata amateeka? Musalira ki amagezi okunzita?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa teyabawa Amateeka? Naye ku mmwe tewali akwata Mateeka ago. Lwaki musala amagezi okunzita?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa teyabawa mateeka, so mu mmwe tewali akwata amateeka? Musalira ki amagezi okunzita?