John 7:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa yabawa okutayirirwa, - sso tekwava ku Musa wabula mu bajjajjammwe - naye ne ku Sabbaato omuntu mumutayirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa kyeyava abalagira okukomolebwa, okukomolebwa tekwatandikira ku Musa wabula kwatandikira ku bajjajjammwe; ne ku Ssabbiiti mukomola omuntu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa kyeyava abawa okukomola (si kubanga kwa Musa naye kwa bajjajja) ne ku ssabbiiti mukomola omuntu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale Musa yabalagira okukomolebwa (newaakubadde tekwatandikira ku Musa, wabula ku bajjajjammwe). Ne ku lunaku lwa Sabbaato mukomola omuntu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa kyeyava abawa okukomola (si kubanga kwa Musa naye kwa bajjajja); ne ku ssabbiiti mukomola omuntu.