John 7:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oba omuntu atayirirwa ku Sabbaato, etteeka lya Musa lireme kumenyebwa, olwo nze ne munsunguwalira olw'okuwonya omuntu ku Sabbaato?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obanga mukomola ku Ssabbiiti etteeka lya Musa lireme okumenyebwa, kale lwaki Nze munsunguwalira olw’okuwonya omuntu ku Ssabbiiti, n’aba mulamu ddala?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oba ng'omuntu akomolebwa ku ssabbiiti, amateeka ga Musa galeme okumenyebwa; lwaki munsunguwalira kubanga nnafuula omuntu omulamu ddala ku ssabbiiti?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oba ng'omuntu akomolebwa ku Sabbaato, etteeka lya Musa lireme kumenyebwa, lwaki nze munsunguwalira olw'okuwonya omuntu ku Sabbaato, n'aba mulamu ddala?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu bw'akomolebwa ku ssabbiiti, amateeka ga Musa galeme okusoba; munsunguwalira kubanga nnafuula omuntu omulamu ddala ku ssabbiiti?