John 7:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'ayogerera waggulu ng'ayigiriza mu Kiggwa n'agamba nti: “Weewaawo nze mmumanyi, ne gye nva mumanyiiyo, naye sajja ku bwange, wabula ow'amazima yennyini ye yantuma, mmwe gwe mutamanyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu bwe yali ng’akyayigiriza mu Yeekaalu n’akangula ku ddoboozi n’agamba nti, “Ddala mummanyi ne gye nva mumanyiiyo. Sajja ku bwange wabula ekituufu nti oyo eyantuma gwe mutamanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu n'ayogerera waggulu mu Yeekaalu ng'ayigiriza n'agamba nti, “Nze mummanyi, era ne gye nva mumanyiiyo; nange sajja ku bwange nzekka, naye oli eyantuma ye wa mazima, gwe mutamanyi mmwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'akangula ku ddoboozi ng'ayigiriza mu Ssinzizo, n'agamba nti: “Nze mummanyi, era ne gye nva mumanyiiyo, sso sajja ku bwange, wabula oyo eyantuma ddala gyali, kyokka mmwe temumumanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yesu n'ayogerera waggulu mu yeekaalu ng'ayigiriza n'agamba nti Nze mummanyi, era ne gye nva mumanyiiyo; nange sajja ku bwange nzekka, naye oli eyantuma ye wa mazima, gwe mutamanyi mmwe.