John 7:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bangi mu kibiina ne bamukkiriza; ne bagamba nti: “Kristu bw'alijja, alikola ebyewuunyo ebisinga ono by'akoze?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bangi mu bibiina by’abantu ne bamukkiriza, ne bagamba nti, “Kale Kristo bw’alijja, alikola eby’amagero ebisinga eby’ono byakoze?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bangi ab'omu kibiina ne bamukkiriza; ne bagamba nti, “Kristo bw'alijja, alikola obubonero bungi okusinga ono bwe yakola?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era bangi mu kibiina ky'abantu ne bamukkiriza, ne bagamba nti: “Kristo bw'alijja, alikola ebyewuunyo bingi okusinga ono by'akola?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bangi ab'omu kibiina ne bamukkiriza; ne bagamba nti Kristo bw'alijja, alikola obubonero bungi okusinga ono bwe yakola?