John 7:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mpaawo akolera mu nkiso sso ng'agenderera okumanyika mu lwatu; oba ggwe okola bino, weeyoleke ensi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tosobola kwatiikirira nga weekwese. Kale obanga, okola ebintu ebyo, weerage eri ensi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga tewali akolera kigambo mu kyama, bw'aba ng'ayagala amanyike mu lwatu. Bw'okola ebyo, weeyoleke eri ensi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga tewali akweka ekyo ky'akola, bw'aba ng'ayagala amanyike mu lwatu. Ggwe nga bw'okola bino, leka ensi yonna ekumanye.” (
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga tewali akolera kigambo mu kyama wabula nga naye yennyini ayagala amanyike mu lwatu. Bw'okola ebyo, weeyoleke eri ensi.