John 7:52 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bo ne bamuddamu nti: “Kazzi naawe oli Mugalilaaya? Wekenneenye Ebiwandiiko olabe; e Galilaaya teva mulanzi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bamuddamu nti, “Naawe wava Ggaliraaya? Nnoonyereza, ojja kulaba nti e Ggaliraaya teva nnabbi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne baddamu ne bamugamba nti, “Naawe wava Ggaliraaya? Noonya, olabe, nnabbi tava mu Ggaliraaya.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bamuddamu nti: “Kazzi naawe wava Galilaaya? Weetegereze ebyawandiikibwa, ojja kulaba nti e Galilaaya tesibuka mulanzi.” [
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne baddamu ne bamugamba nti Naawe wava Ggaliraaya? Noonya, olabe, nnabbi tava mu Ggaliraaya,