John 7:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Akadde kange tekannatuuka; mmwe akadde akammwe bulijjo weekali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’abaddamu nti, “Ekiseera kyange eky’okugenda tekinnatuuka. Naye mmwe muyinza okugenda mu kiseera kyonna we mwagalira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu n'abagamba nti, “Ekiseera kyange tekinnaba kutuuka; naye ekiseera kyammwe ennaku zonna kibeerawo nga kyeteeseteese.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'abagamba nti: “Ekiseera ekyange tekinnatuuka, naye ekiseera ekyammwe bulijjo kibaawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yesu n'abagamba nti Ekiseera kyange tekinnaba kutuuka; naye ekiseera kyammwe ennaku zonna kibeerawo nga kyeteeseteese.