John 8:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukazi n'agamba nti: “Ssebo, tewali.” Yezu n'agamba nti: “Nange sijja kukusalira musango; genda, naye koma okwo, n'okuva kati togezanga kwonoona.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukazi n’amuddamu nti, “Mukama wange, tewali n’omu.” Yesu n’amugamba nti, “Nange sikusalira musango kukusinga. Genda, naye toddangayo okwonoona.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye n'agamba nti, “Mpaawo muntu, Mukama wange.” Yesu n'agamba nti, “Nange sisala kukusinga, genda; okuva leero toyonoonanga lwa kubiri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukazi n'addamu nti: “Tewali, Ssebo.” Yesu n'agamba nti: “Nange sikusalira musango kukusinga. Genda, naye toddangayo okwonoona.”]
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye n'agamba nti Mpaawo muntu, Mukama wange. Yesu n'agamba nti Nange sisala kukusinga: genda; okusooka leero toyonoonanga lwa kubiri.