John 8:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era Yezu n'ayongera okwogera nabo, n'agamba nti: “Nze kitangaala ky'ensi; angoberera tatambulira mu kizikiza; alibeera n'ekitangaala eky'obulamu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu n’ayongera okwogera n’ekibiina, n’agamba nti, “Nze Musana gw’ensi. Angoberera taatambulirenga mu kizikiza, wabula anaabeeranga n’omusana ogw’obulamu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu n'ayogera nabo nate, n'agamba nti, “Nze musana gw'ensi: angoberera taatambulirenga mu kizikiza, naye anaabanga n'omusana ogw'obulamu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'ayongera okwogera nabo, n'agamba nti: “Nze kitangaala ky'ensi. Angoberera, taatambulirenga mu kizikiza, wabula anaabeeranga n'ekitangaala eky'obulamu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yesu n'ayogera nabo nate, n'agamba nti Nze musana gw'ensi: angoberera taatambulirenga mu kizikiza, naye anaabanga n'omusana ogw'obulamu.