John 8:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'abaddamu nti: “Newandibadde neejulira nzennyini, okujulira kwange kwa mazima; kubanga mmanyi gye nsibuka ne gye ndaga; sso mmwe temumanyi gye nva na gye ndaga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’abaddamu nti, “Newaakubadde neeyogerako, bye njogera bituufu, kubanga mmanyi gye nava ne gye ndaga. Naye mmwe temumanyi gye nva wadde gye ndaga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'addamu n'abagamba nti, “Newakubadde nga nneetegeeza nzekka, okutegeeza kwange kwa mazima; kubanga mmanyi gye nnava, ne gye ŋŋenda; naye mmwe temumanyi gye nva, newakubadde gye ŋŋenda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'abaddamu nti: “Newaakubadde nga neeyogerako, bye njogera bya mazima, kubanga mmanyi gye nava ne gye ndaga. Naye mmwe temumanyi gye nva, wadde gye ndaga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'addamu n'abagamba nti Newakubadde nga nneetegeeza nzekka, okutegeeza kwange kwa mazima; kubanga mmanyi gye nnava, ne gye ŋŋenda; naye mmwe temumanyi gye nva, newakubadde gye ŋŋenda.