John 8:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Singa mba nnamudde, ensala yange eba ya mazima, kubanga siba bw'omu nga nnamula, wabula tuba nze n'oyo eyantuma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye singa mbadde nsala omusango, ensala yange ya mazima, kubanga siri nzekka, naye ndi ne Kitange eyantuma.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye newakubadde nga nze nsala omusango, okusala kwange kwa mazima; kubanga nze siri omu, naye nze ne Kitange eyantuma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mba kusala musango, ensala yange yandibadde ya mazima, kubanga siri bw'omu, ndi wamu ne Kitange eyantuma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye newakubadde nga nze nsala omusango, okusala kwange kwa mazima; kubanga nze siri omu, naye nze ne Kitange eyantuma.