John 8:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebigambo bino Yezu yabyogerera mu kifo ky'eggwanika bwe yali ng'ayigiriza mu Kiggwa; tewaali n'omu amukwata, kubanga akadde ke kaali tekannatuuka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebigambo ebyo Yesu yabyogerera mu kifo omuteekebwa ebirabo, bwe yali ng’ayigiriza mu Yeekaalu. Naye ne wataba amukwata, kubanga ekiseera kye kyali tekinnatuuka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebigambo ebyo yabyogerera mu ggwanika, bwe yali ng'ayigiriza mu Yeekaalu; so tewaali eyamukwata, kubanga ekiseera kye kyali nga tekinnaba kutuuka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebigambo ebyo Yesu yabyogerera mu kifo omuteekebwa ebirabo, bwe yali ng'ayigiriza mu Ssinzizo. Ne wataba n'omu amukwata, kubanga ekiseera kye kyali tekinnatuuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebigambo ebyo yabyogerera mu ggwanika, bwe yali ng'ayigiriza mu yeekaalu: so tewaali eyamukwata, kubanga ekiseera kye kyali nga tekinnaba kutuuka.