John 8:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nnina bingi eby'okuboogerako n'eby'okubalamulamu; ye oli eyantuma wa mazima, nange bye naggya gy'ali bye mbuulira ensi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nnina bingi eby’okuboogerako n’okubasalira omusango okubasinga, kyokka eyantuma wa mazima, era ebyo bye nawulira okuva gy’ali bye ntegeeza ensi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnina bingi eby'okuboogerako n'okubasalira omusango; naye oli eyantuma ye wa mazima; nange bye nnawulira gy'ali bye biibyo bye njogera eri ensi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nnina bingi eby'okuboogerako, n'okubasalira omusango okubasinga, kyokka oyo eyantuma ddala gyali era ebyo bye nawulira gy'ali, bye ntegeeza abantu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nnina bingi eby'okuboogerako n'okubasalira omusango; naye oli eyantuma ye wa mazima; nange bye nnawulira gy'ali bye biibyo bye njogera eri ensi.