John 8:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'abagamba nti: “Bwe muliba mumaze okuwanika Omwana w'Omuntu, olwo lwe mulitegeera nga nze wuuyo; era nga sikola bintu ku bwange, wabula nga njogera ebyo nga Taata bwe yanjigiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu n’abagamba nti, “Bwe mulimala okuwanika Omwana w’Omuntu ne mulyoka mutegeera nti nze wuuyo, era siriiko kye nkola ku bwange, naye njogera ebyo Kitange bye yanjigiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu n'agamba nti, “Bwe mulimala okuwanika Omwana w'omuntu ne mulyoka mutegeera nga nze wuuyo, so nze siriiko kye nkola ku bwange, naye nga Kitange bwe yanjigiriza, bwe njogera bwe ntyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'abagamba nti: “Bwe mulimala okuwanika Omwana w'Omuntu, ne mulyoka mutegeera nga Ye Nze, era nga Nze siriiko kye nkola ku bwange, wabula nga njogera ebyo, Kitange bye yanjigiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yesu n'agamba nti Bwe mulimala okuwanika Omwana w'omuutu ne mulyoka mutegeera nga nze wuuyo, so nze siriiko kye nkola ku bwange, naye nga Kitange bwe yanjigiriza, bwe njogera bwe ntyo.