John 8:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bo ne bamuddamu nti: “Tuli bazzukulu ba Yiburayimu, tetubeerangako baddu ba muntu; lwaki ogamba nti: ‘Muliba ba ddembe’?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bamuddamu nti, “Ffe tuli bazzukulu ba Ibulayimu, tetubangako baddu ba muntu n’omu. Oyinza otya okugamba nti, ‘Mulifuuka ba ddembe?’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bamuddamu nti, “Ffe tuli zzadde lya Ibulayimu, so tetufugibwanga muntu yenna; oyogera otya ggwe nti, Mulifuuka ba ddembe?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bamuddamu nti: “Ffe tuli bazzukulu ba Aburahamu. Tetubangako baddu ba muntu n'omu. Oyinza otya okugamba nti: ‘Mulifuuka ba ddembe?’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bamuddamu nti Ffe tuli zzadde lya Ibulayimu, so tetufugibwanga muntu yenna: oyogera otya ggwe nti Mulifuuka ba ddembe?