John 8:39 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bo ne bamuddamu nti: “Kitaffe ye Yiburayimu.” Yezu n'abagamba nti: “Singa mubadde baana ba Yiburayimu, mwandikoze nga Yiburayimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bamuddamu nti, “Kitaffe ye Ibulayimu.” Yesu n’abaddamu nti, “Singa mubadde baana ba Ibulayimu mwandikoze ebyo Ibulayimu bye yakola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne baddamu ne bamugamba nti, “Ibulayimu ye kitaffe.” Yesu n'abagamba nti, “Singa mubadde baana ba Ibulayimu, mwandikoze ebikolwa bya Ibulayimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bamuddamu nti: “Kitaffe ye Aburahamu.” Yesu n'abagamba nti: “Singa mubadde baana ba Aburahamu, mwandikoze ebyo Aburahamu bye yakola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne baddamu ne bamugamba nti Ibulayimu ye kitaffe. Yesu n'abagamba nti Singa mubadde baana ba Ibulayimu, mwandikoze ebikolwa bya Ibulayimu.