John 8:40 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye kaakano mwagala okunzita, nze omuntu ababuulidde amazima ge naggya ewa Katonda; ekyo Yiburayimu si kye yakola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye kaakano, Nze ababuulidde ebyo byennyini bye nawulira okuva eri Katonda musala amagezi okunzita. Ekifaanana ng’ekyo Ibulayimu teyakikola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye kaakano musala amagezi okunzita omuntu ababuulidde eby'amazima, bye nnawulira eri Katonda: Ibulayimu teyakola bw'atyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye kaakano, nze omuntu ababuulidde amazima ge nawulira okuva eri Katonda, musala amagezi okunzita. Aburahamu ekyo takikolanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye kaakano musala amagezi okunzita omuntu ababuulidde eby'amazima, bye nnawulira eri Katonda: Ibulayimu teyakola bw'atyo.