John 8:44 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mmwe muva mu kitammwe Sitaani; kitammwe bye yeegomba bye mwagala okukola. Ye okuviira ddala mu masooka mutemu, amazima tagaliiko, kubanga mu ye temuli mazima n'akamu. Bw'alimba aba agoberedde enkula ye, kubanga ye mulimba era ye kitaawe w'obulimba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Setaani ye kitammwe era nammwe mwagala okukola ebyo kitammwe by’ayagala. Okuva ku lubereberye mutemu era tanywerera mu mazima, era mu ye temuli mazima. Bw’ayogera eby’obulimba ayogera ebiva mu bibye, kubanga mulimba era kitaawe w’abalimba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mmwe muli bakitammwe Setaani, era mwagala okukola okwegomba kwa kitammwe. Oyo okuva ku lubereberye ye mussi, so teyanywerera mu mazima, kubanga amazima tegaali mu ye. Bw'ayogera obulimba, ayogera ekiva mu bibye; kubanga ye mulimba era kitaawe w'obulimba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kitammwe ye Sitaani, era mwagala okukola ebyo kitammwe bye yeegomba. Ye okuviira ddala olubereberye mutemu, tanywereranga ku mazima, kubanga mu ye temuli mazima. Bw'ayogera eky'obulimba, aba ayogera ekikye ddala, kubanga ye mulimba, era ye nsibuko y'obulimba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mmwe muli ba kitammwe Setaani, era mwagala okukola okwegomba kwa kitammwe. Oyo okuva ku lubereberye ye mussi, so teyanywerera mu mazima, kubanga amazima tegaali mu ye. Bw'ayogera obulimba, ayogera ekiva mu bibye; kubanga ye mulimba era kitaawe w'obulimba.