John 8:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati nno Musa mu tteeka yatulagira ow'engeri eyo okumukuba amayinja. Kale ggwe ogamba ki?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amateeka Musa ge yatulagira gagamba kubakuba mayinja abali ng’ono. Noolwekyo ggwe ogamba otya ku nsonga eyo?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye mu mateeka Musa yatulagira okubakubanga amayinja abakola bwe batyo. Kale ggwe oyogera otya ku ye?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mateeka, Musa yatulagira, ow'engeri eyo okumukuba amayinja afe. Ggwe ogamba ki?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye mu mateeka Musa yatulagira okubakubanga amayinja abakola bwe batyo: kale ggwe oyogera otya ku ye?