John 8:52 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayudaaya ne bagamba nti: “Kati tutegeeredde ddala ng'olimu omwoyo omubi; kale Yiburayimu yafa, n'abalanzi baafa, ate ggwe ogamba nti: ‘Buli akwata ekigambo kyange, taliraba ku lumbe emirembe gyonna.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Abayudaaya ne bamuddamu nti, “Kaakano tutegeeredde ddala nti oliko dayimooni. Ibulayimu yafa era ne bannabbi baafa, ate ggwe ogamba nti, ‘Buli anywerera ku kigambo kyange talifa emirembe n’emirembe.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abayudaaya ne bamugamba nti, “Kaakano tutegedde ng'oliko dayimooni. Ibulayimu yafa ne bannabbi; naawe ogamba nti, Omuntu bw'akwata ekigambo kyange, talirega ku kufa emirembe n'emirembe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayudaaya ne bamugamba nti: “Kaakano tutegeeredde ddala ng'oliko omwoyo omubi. Aburahamu yafa, n'abalanzi baafa. Ate ggwe ogamba nti: ‘Buli akwata ekigambo kyange, talifa emirembe n'emirembe.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abayudaaya ne bamugamba nti Kaakano tutegedde ng'oliko dayimooni. Ibulayimu yafa ne bannabbi; naawe ogamba nti Omuntu bw'akwata ekigambo kyange, talirega ku kufa emirembe n'emirembe.