John 8:55 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
sso nga temumumanyi na kumumanya. Naye nze mmumanyi; singa ŋŋamba nti simumanyi, nandibadde mulimba nga mmwe; naye nze mmumanyi n'ekigambo kye nkikwata.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
mmwe temumumanyi. Nze mmumanyi. Bwe ŋŋamba nti simumanyi mba mulimba nga mmwe bwe muli. Nze mmumanyi era n’ekigambo kye nkikuuma.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
so temumutegeeranga, naye nze mmumanyi; bwe nnaagamba nti Simumanyi, nnaaba mulimba nga mmwe, era nkwata ekigambo kye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sso temumumanyi, kyokka nze mmumanyi bulungi. Era singa ŋŋamba nti: ‘Simumanyi,’ nandibadde mulimba nga mmwe. Nze mmumanyi, era nkwata ekigambo kye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
so temumutegeeranga: naye nze mmumanyi; bwe nnaagamba nti Simumanyi, nnaafaanana nga mmwe, mulimba: naye mmumanyi, era nkwata ekigambo kye.