John 8:57 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayudaaya ne bamugamba nti: “Tonnaweza myaka ataano, n'oba nga walaba Yiburayimu?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abayudaaya ne bamugamba nti, “Tonnaweza na myaka amakumi ataano egy’obukulu n’ogamba nti walaba Ibulayimu?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abayudaaya ne bamugamba nti, “Tonnaba kuweza myaka ataano (50), naye Ibulayimu wamulaba?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abayudaaya ne bamugamba nti: “Ggwe atannaweza myaka makumi ataano, ggwe walaba Aburahamu?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Abayudaaya ne bamugamba nti Tonnaba kuweza myaka makumi ataano, naye Ibulayimu wamulaba?