John 8:58 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'abaddamu nti: “Mbagambira ddala mazima nti Yiburayimu yali tannabaawo, nze nga wendi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’abaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti Ibulayimu yali tannabaawo, Nze nga wendi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'abagamba nti, “ Ddala ddala mbagamba nti Ibulayimu nga tannaba kuzaalibwa, nze nga wendi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'abagamba nti: “Mazima ddala mbagamba nti Aburahamu yali tannabaawo, nga Nze wendi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'abagamba nti Ddala ddala mbagamba nti Ibulayimu nga tannaba kuzaalibwa, Nze nga wendi.