John 8:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga baali tebatadde kumuteeteza, n'akutaamulukuka, n'abagamba nti: “Mu mmwe ataliiko kibi y'aba asooka okumukasuukirira ejjinja.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe beeyongera okumubuuza, n’akutaamulukuka, n’agamba nti, “Mu mmwe atayonoonangako y’aba asooka okumukuba ejjinja.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bwe baayongera okumubuuza, ne yeegolola n'abagamba nti, “Mu mmwe atayonoonangako, ye aba asooka okumukuba ejjinja.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe beeyongera okumubuuza, n'akutaamulukuka, n'agamba nti: “Mu mmwe atayonoonangako, ye aba asooka okumukuba ejjinja.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bwe baayongera okumubuuza, ne yeegolola n'abagamba nti Mu mmwe atayonoonangako, asooke okumukuba ejjinja.