John 8:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baawulira ekyo, ne beeseebulula kinnoomu nga basookera ku basinga obukulu. Yezu n'asigala yekka ng'omukazi ayimiridde awo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baawulira ebyo, ne baseebulukuka kinnoomu, abasinga obukulu nga be basoose, okutuusa Yesu n’omukazi bwe baasigalawo bokka mu maaso g’ekibiina.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nabo bwe baawulira ekigambo ekyo ne bafuluma ebweru musoolesoole, abakadde be baasooka, okutuusa ku b'enkomerero; Yesu n'asigalawo yekka, n'omukazi we yali wakati.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bo bwe baawulira ebyo, ne bavaawo kinnoomu, abasinga obukulu nga be basooka. Yesu n'omukazi eyali ayimiridde awo, ne basigalawo bokka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nabo bwe baawulira ne bafuluma ebweru musoolesoole, abakadde be baasooka, okutuusa ku b'enkomerero: Yesu n'asigalawo yekka, n'omukazi we yali wakati.