John 9:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'addamu nti: “Omusajja oli ayitibwa Yezu yakoze obudongo n'abusiiga ku maaso, n'aŋŋamba nti: ‘Genda ku Silowamu onaabe.’ Ne ŋŋenda, ne nnaaba, ne ndaba.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abategeeza nti, “Omuntu ayitibwa Yesu, yatabula ettaka n’alinsiiga ku maaso, n’andagira nti, ‘Genda e Sirowamu onaabe.’ Ne ŋŋenda ne naaba, ne nsobola okulaba.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ye n'addamu nti, “Omuntu ayitibwa Yesu yatabula ettaka, n'ansiiga ku maaso, n'aŋŋamba nti, Genda ku Sirowamu, onaabe: awo ne ŋŋenda, ne nnaaba, ne nzibula.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ye n'addamu nti: “Omuntu ayitibwa Yesu yatabula ettaka, n'alinsiiga ku maaso, n'aŋŋamba nti: ‘Genda ku Silowaamu onaabe.’ Ne ŋŋenda, ne nnaaba, ne nsobola okulaba.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ye n'addamu nti Omuntu ayitibwa Yesu yatabula ettaka, n'ansiiga ku maaso, n'aŋŋamba nti Genda ku Sirowamu, onaabe: awo ne ŋŋenda, ne nnaaba, ne nzibula.