John 9:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abafarisaayo nabo era ne bamubuuza nga bwe yazzeemu okulaba. N'abagamba nti: “Yantadde obudongo ku maaso, ne nnaaba, ne ndaba.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abafalisaayo nabo ne babuuza omuntu oyo engeri gye yazibuka amaaso. Awo n’ababuulira ng’agamba nti, “Yesu yatabula ettaka n’alinsiiga ku maaso, ne naaba, kaakano ndaba.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abafalisaayo ate ne bamubuuza bwe yazibula. N'abagamba nti, “Yansiiga ttaka ku maaso, ne nnaaba, ne nzibula.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abafarisaayo nabo ne babuuza omuntu oyo nga bwe yazibuka amaaso. N'abagamba nti: “Yansiiga ttaka ku maaso, ne nnaaba, ne nsobola okulaba.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Abafalisaayo ate ne bamubuuza bwe yazibula. N'abagamba nti Yansiiga ttaka ku maaso, ne nnaaba, ne nzibula.