John 9:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abamu ku Bafarisaayo ne bagamba nti: “Omuntu oyo si wa Katonda, kubanga takwata Sabbaato.” Abalala ne bagamba nti: “Omuntu omwonoonyi ayinza atya okukola obubonero ng'obwo?” Ne bajjamu enjawukana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abamu ku bo ne bagamba nti, “Omusajja oyo Yesu teyava wa Katonda kubanga takwata Ssabbiiti.” Kyokka abalala ne bagamba nti, “Omuntu omwonoonyi ayinza atya okukola eby’amagero ebifaanana bwe bityo?” Ne wabaawo okwawukana kunene mu bo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abafalisaayo abamu ne bagamba nti, “Omuntu oyo si wa Katonda, kubanga takwata ssabbiiti.” Naye abalala ne bagamba nti, “Omuntu alina ebibi ayinza atya okukola obubonero obwenkanidde wano?” Ne wabaawo okwawukana mu bo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abafarisaayo abamu ne bagamba nti: “Omuntu oyo eyakola ekyo tayinza kuba nga yava wa Katonda, kubanga takwata tteeka lya Sabbaato.” Naye abalala ne bagamba nti: “Omuntu omwonoonyi ayinza atya okukola ebyewuunyo ebyenkanidde awo?” Ne wabaawo obutakkiriziganya mu bo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Abafalisaayo abamu ne bagamba nti Omuntu oyo si wa Katonda, kubanga takwata ssabbiiti. Naye abalala ne bagamba nti Omuntu alina ebibi ayinza atya okukola obubonero obwenkanidde wano? Ne wabaawo okwawukana mu bo.