John 9:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo era ne bagamba eyali muzibe nti: “Oyo omugambako ki nga bwe yakuzibudde amaaso?” Ye n'abagamba nti: “Mulanzi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Abafalisaayo ne bakyukira omusajja eyali omuzibe w’amaaso ne bamubuuza nti, “Omuntu oyo eyakuzibula amaaso olowooza wa ngeri ki?” Omusajja n’addamu nti, “Ndowooza nnabbi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne bamugamba nate omuzibe w'amaaso nti, “Ggwe omuyita otya, kubanga yakuzibula amaaso?” Naye n'agamba nti, “Ye nnabbi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo eyali muzibe ne baddamu okumubuuza nti: “Oyo nga bwe yakuzibula amaaso, ggwe omuyita otya?” Ye n'addamu nti: “Mulanzi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne bamugamba nate omuzibe w'amaaso nti Ggwe omuyita otya, kubanga yakuzibula amaaso? Naye n'agamba nti Ye nnabbi.