John 9:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bababuuza nti: “Ono ye mutabani wammwe gwe mugamba nti yazaalibwa nga muzibe? Kati alaba atya?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne bababuuza nti, “Ono mutabani wammwe? Era yazaalibwa nga muzibe wa maaso? Kale obanga bwe kiri kaakano asobola atya okulaba?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne bababuuza nga bagamba nti, “Ono ye mwana wammwe mmwe gwe mugamba nti yazaalibwa nga muzibe w'amaaso? kale kaakano alaba atya? ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne bababuuza nti: “Ono ye mwana wammwe, gwe mugamba nti yazaalibwa nga muzibe? Kale kaakano kiki ekimusobozesezza okulaba?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne bababuuza nga bagamba nti Ono ye mwana wammwe mmwe gwe mugamba nti yazaalibwa nga muzibe w'amaaso? kale kaakano alaba atya?