John 9:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayigirizwa be ne bamubuuza nti: “Rabbi, ono okuzaalibwa nga muzibe ani yayonoona, ye nandiki bazadde be?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abayigirizwa be ne bamubuuza nti, “Labbi, ani eyayonoona, ono oba bazadde be alyoke azaalibwe nga muzibe w’amaaso?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abayigirizwa be ne bamubuuza, nga bagamba nti, “Labbi, ani eyayonoona, ono oba abazadde be, kye kyamuzaaza nga muzibe wa maaso?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayigirizwa be ne bamubuuza nti: “Muyigiriza, ono okuzaalibwa nga muzibe, ani yayonoona, ono yennyini, oba bazadde be?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abayigirizwa be ne bamubuuza, nga bagamba nti Labbi, ani eyayonoona, ono oba abazadde be, kye kyamuzaaza nga muzibe wa maaso?