John 9:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abazadde be ne babaddamu nti: “Tumanyi ng'ono mutabani waffe, era nga yazaalibwa muzibe;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bakadde be ne baddamu nti, “Tumanyi ng’oyo ye mutabani waffe era nga yazaalibwa muzibe wa maaso.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abazadde be ne baddamu ne bagamba nti, “Tumanyi ng'ono ye mwana waffe, era nga yazaalibwa nga muzibe wa maaso:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abazadde be ne baddamu nti: “Tumanyi ng'ono ye mwana waffe, era nga yazaalibwa nga muzibe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abazadde be ne baddamu ne bagamba nti Tumanyi ng'ono ye mwana waffe, era nga yazaalibwa nga muzibe wa maaso: