John 9:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
naye okuba nga kati alaba, tetukimanyi; n'eyamuzibudde amaaso ffe tetumumanyi. Mumubuuze, anti mukulu; ajja kweyogerera.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye engeri gye yazibukamu amaaso tetugimanyi, era n’eyamuzibula amaaso tetumumanyi. Wuuyo musajja mukulu mumwebuulize ajja kweyogerera.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye bw'alaba kaakano tetumanyi: so n'eyamuzibula amaaso ffe tetumanyi bw'ali: mumubuuze; musajja mukulu; aneeyogerera yekka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye tetumanyi kimusobozesezza kulaba kaakano, era eyamuzibula amaaso, ffe tetumumanyi. Mumubuuze, muntu mukulu, aneeyogerera.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye bw'alaba kaakano tetumanyi: so n'eyamuzibula amaaso ffe tetumanyi bw'ali: mumubuuze; musajja mukulu; aneeyogerera yekka.