John 9:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bazadde be baayogera batyo lwa kutya Bayudaaya, kubanga Abayudaaya baali beekobye okugoba mu sinaagooga buli muntu eyandimwatudde nti ye Kristu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekyaboogeza batyo lwa kutya Bayudaaya. Kubanga Abayudaaya baali bamaze okuteesa nti buli ayatula nti Yesu ye Kristo agobebwe mu kuŋŋaaniro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abazadde ekyaboogeza bwe batyo kubanga baali batya Abayudaaya; kubanga Abayudaaya baali nga bamaze okukkaanya nti buli muntu anaamwatulanga okuba Kristo, agobebwenga mu kkuŋŋaaniro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bazadde be baayogera bwe batyo lwa kutya Bayudaaya, kubanga Abayudaaya baali bamaze okukkaanya nti buli muntu ayatula nti Yesu ye Kristo, wa kugobebwa mu kkuŋŋaaniro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abazadde ekyaboogeza bwe batyo kubanga baali batya Abayudaaya; kubanga Abayudaaya baali nga bamaze okulagaana buli muntu anaamwatulanga okuba Kristo, agobebwenga mu kkuŋŋaaniro.