John 9:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abagamba nti: “Oba mwonoonyi, simanyi; mmanyi kimu nti nze nali muzibe, naye kaakano ndaba.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusajja n’addamu nti, “Oba mwonoonyi oba si mwonoonyi simanyi, wabula kye mmanyi kiri kimu nti nnali muzibe w’amaaso, naye kaakano ndaba.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ye n'addamu nti, “Oba ng'alina ebibi simanyi; ekigambo kimu kye mmanyi nti Nnali muzibe wa maaso, naye kaakano ndaba.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ye n'addamu nti: “Oba mwonoonyi, simanyi. Kye mmanyi, nali muzibe, naye kaakano ndaba.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ye n'addamu nti Oba ng'alina ebibi simanyi; ekigambo kimu kye mmanyi nti Nnali muzibe wa maaso, naye kaakano ndaba.